We were unable to load Disqus. If you are a moderator please see our troubleshooting guide.

kabayekka • 4 years ago

Ekisanye okukolebwa mubwangu nga mwe abekanisa ababulira enjiri ya Isa Masiya eyamazima kwekufunira abantu ba Uganda welfare state. Kubanga abagagga abali munsi eno basobolera ddala okusasulira abaavu obuyambi bwebasaba buli budde nga nobukunkumuka obuggwa wansi wemeeza zabagagga, abaavu bano tebasobola nakubufuna. Kibi nyo, era Setani.

kabayekka • 4 years ago

Mukulu Luwalira nkukakasa nti omuntu asabiriza atama. Era ne mukitabo ekitukuvu omuntu oyo mwali. Era kiruma nyo nti ate bweyaffa omusabiriza ono nagenda eri eyamutonda ate yagenda okutunula ebbali nga abagagga beyali asabiriza obukunkumuka obwaali bugwa wansi we meeza nga balya embaga zaabwe munsi, ate nga bali mumuliro gubokya okukamala. Bamukabira abawe kumazzi banywe nga enyonta ejula okubatta nabagamba nti banange nga nange sikyasobola kubatuukako nga bwekyaali munsi!

kabayekka • 4 years ago

Tetuyinza kwelabira Abazunga abaleeta ebyeddiini zino enzungu. Bwebabulira nga enjiri nga bayita mumateeka gensi, ate nebaleeta wo amalwaliro, amasomero era nebyobufuzi nga babiyingiramu okulaba nga Abakkiriza baabwe baganyulwa mukufugibwa kwabebyobufuzi. Tuwulira nti nettaka eryawebwa amaddiini gano mu Buganda kyali kulaba nga ebitekebwa kumattaka gano biganyula abantu ba Buganda bonna so si kulitunda kukola sente nakugaggawaza abakulembeze bamaddiini gano!

kabayekka • 4 years ago

Abakristayo bandyagade okumanya ebisingako awo kukibiina ekibuulira enjiri ekikulemberwa Mr Muwonge. Teri mutuuze wa Uganda atamanyi babulizi banjiri mumakubo, mumakanisa gabwe agenjawulo, ekiro nemisana buli lunnaku. Era governmenti ababulizi benjiri bano ebawa charity ngabagisabye, nobutasasula musolo nga bakola emirimu gyabwe. Era abamu abatuuze ababulira enjiri bagagga nyo nga nebyemirimu egivaamu sente nebyomusolo okusasula mu Uganda Revenue Authority tebibatawanya nakamu era tebagala kumanya.